
Omulamuzi wa kkooti enkulu mu kampala eragidde kampuni z’amasimu okuli MTN ne Airtel okuleeta olukalala lw’amasimu agaakubibwa n’okukubirwa akulira abakuumi ba Mbabazi Christopher Aine balabe oba ddala yayogera ne kizibwe we Ezra Kabugo nga tanabuzibwawo.
Omulamuzi ategezezza nga bwebaagala omusango omukulu ogw’abenyumbaye okusaba Aine aleetebwe mulamu oba mufu guwulirwe mangu awatali kuddamu kukandalirira.
Kati omusango guno gwakuwulirwa nga 16 Feb 2016.
Munnamateeka wa Aine John Mary Mugisha ategezezza kkooti nti obujulizi buno bwakulagira ddala nti poliisi erina w’ekukulidde omuntu waabwe mungeri emenya amateeka.
Aine taddangamu kulabikako okuva Dec 16 2015.