Abaziyiza emisango mu bitundu by’e Masaka bavudde mu mbeera lwa poliisi kugaana kubawandiika nga abaserikale abajuvu
Bano bagamba batandika okukola nga abaziyiza emisango oluvanyuma lw’okubasuubiza nti bakuyingizibwa mu poliisi wabula kati balaba byandiba nga byonna byooya byanswa.
Omu ku baziyiza emisango Musa Mukumirizi agamba bewaayo nebatendekebwa emyezi egisukka mu 4 nga bamanyi kiwedde bayingidde poliisi wabula kati baabefulidde.
Wabula aduumira poliisi e Masaka Maxwell Ogwal asabye bonna abaziyiza emisango okusigala nga bakkakamu oluddamu okuwandiisa abaserikale bebajja okusooka okulowozebwako.
Agamba bangi ku bano baagwa mu kutendekebwa kale nga tebasobola kubayingiza poliisi.