
Eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi akyaliddeko ab’enju y’omugenzi Idi Amin ng’ono yaliko omukulembeze w’eggwanga.
Mbabazi agambye nti ebyakolebwa ba jjajja ffe tebisaanye kussibwa ku bazzukulu kale ng’abantu ba idi Amin tebalina kunenyezebwa ku byaliwo
Mbabazi era asabye abantu okutabagana yadde baba nga bafunye obutakkaanya
Bw’amaze agenze e Boma mu Yumbe gy’asinzidde era neyewunya engeri Dr Abed Bwanika gyamuyiye n’atalabikako eri bantu nga bwebategeraganye
Bwanika ne Mbabazi babadde bakukuba nkungaana babiri kubanga bali mu kitundu kye kimu kyokka nga Bwanika yamwegaanye
Mbabazi asabye era abantu okulonda enkyukakyuka etalimu njawukana nga keekadde abavuganya begatte okusigukulula pulezidenti Museveni.