Skip to content Skip to footer

Omusirikale yesse

Waliwo omuserikale wa poliisi eyesse mu disitulikiti ye Bukedea.

 

Omulambo gwa Ronald Wamatoi nga akolera ku poliisi ye Bukedia gusangiddwa nga gulengejera ku muti emabega w’essomero lya Bukedea Senior Secondary School.

 

Omwogezi wa poliisi mu  East Kyoga Juma Hassan Nyene, Wamatoi nga abadde y’akamala okutendekebwa y’atabuse omutwe n’ajanjabibwa wabula kirabika teyateredde bulungi kwekusalawo okwetta.

 

Nyene alabudde abasawo abakebera ababa bayingira poliisi okwongera okwekeneneya buli ayagala okuyingira poliisi okwewala okuyungiza abalwadde abatasobola kumalako na kutendekebwa.

Leave a comment

0.0/5