Akakiiko k’ebyokulonda kalabudde poliisi ku ky’okukwata ku bigenda okukozesebwa mu kulonda kwa nga 18 omwezi guno.

Alondoola ebyokulonda mu bitundu bya Busoga, Apollo Musinguzi agamba nti okukwata ku bikozesebwa mu kulonda kireeta akavuyo n’okuttattana ekifananya ky’akakiiko akalondesa.
Musinguzi agamba nti naddala obubokisi okuli obululu bubaako envumbo ezirina okusumululwa akakiiko akalondesa kyokka nga poliisi emanyi okweyitiriza
Ono era alabudde abakyala abatagaala kubateeka bwiino ku ngalo zaabwe nti tebatawaana kugenda kulonda.
Bannayuganda bakusuula akalulu nga 18 omwezi guno okulonda pulezidenti n’ababaka ba palamenti