Omuwendo gw’abaserikale abaakafiira mu bulumbaganyi obwakoleddwa e Kapchorwa gulinye okutuuka ku babiri oluvanyuma Steven Lubega okufiira mu ddwaliro lye Mbale gyeyatwaliddwa.

Olunaku lweggulo waliwo ekibinja ky’abazigu abalumbye poliisi ye Kapchorwa nebayimbula munabwe Chemusaka John nebatta omuserikale gwebasanzewo Kaddu Hakim mu kuwanyisa amasasi.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba kati abantu 2 bebakafa sso nga abalala bakyali mu mbeera mbi.
Abalala abaalumiziddwa kuliko Musumba Jeremiah, eyakubiddwa essasi mu kisambi sso nga ye Rukundo Junior ekisosonkole kyamukubye mu kifuba.