Bya Malikh Fahad
Abazadde ku ssomero lya Kyewanula P/S mu district ye Lyantonde, bawadde abatandisi wiiki 2, okugoba omukulu we ssomero, gwebalumiriza aokudibaga emirmu.
Abazadde amakya ga leero balaumbye essomero, nebasikayo omukulu we ssomero Amir Lutaaya, nebaggala ne wofiisi ye.
Abazadde bano babadde balumbeddwamu Lydia Nankunda, bagamba nti abaana tebakyayita, okujjako okugwa atenga nemirmu gyenkulakulana ku ssomero tejikyatambula.
Wabula District Kadhi we Lyantonde, Mubaraka Abudsalam omu ku batandisi be ssomero lino, agumizza abazadde, nti okwemulugunya kwabwe kugenda kukolebwako.
Agambye nti bakwataganye nabatwala ebyenjigiriza, okutuuka ku kukaanya.