Skip to content Skip to footer

Katemba mu kakiiko ka palamenti akamateeka

Bya Kyeyune Moses

Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti, Winnie Kiiza ayagala ebbago lyomubaka Rapheal Magyezi lisulibwe mu kasero, obuvunayizbwa babuddize gavumenti okutukiriza obweyamu bwayo bweyakola okuleeta ennongisererza mu ssemateeka eza wamu.

Ebbago lino lirubiridde okujjawo akawayiro 102(b) atekeeka ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga mu ssemateeka.

Wabula bwabadde alabiseseko mu kakiiko ka palamentri akamatreeka olwaleero, Winnie Kiiza anokoddeyo ensonga nga 4 zagambye nti nkulu gamba okutekawo akakiiko aketogodde okuddamu okwekennenya ssemateeka, okuteeka mu nkola ebyalamulwa kooti ensukulumu okukola ennongosererza mu ssemateeka nebiralala.

Ategezeza nti ebbago lino eryomubaka ssekinoomu osanga lyandigenze mu akakiiko akenjawulo, akayinza okwekenneeya ssemateeka awamu.

Winnie Kiiza ategezezza nti okutigtiga ssemateeka ku nnyingo 102(b) kyabulabe akageri gyekirubiridde okusanyusa omuntu omu, omukulembeze we gwanga aliko.

Alabudde ababaka ku kakiiko kamateeka kukya sssemateeka, okukolebwanga okukuumanga abakulembeze abali mu buyinza.

Mu kusooka emirimu gyakakiiko gyasanyalalamu, olwe nyambala, abamu gyebabadde bemulugunyako.

Omubaka we ssaza lya Kitagwenda, Agaba Abbas abadde yemulugunya kungeri omubaka owa munisipaali eye Rukungiri Roland Kaginda gyabadde ayambaddemu, ngono abadde ataddeko enkofiira emyufu ku mutwe songa yakisiraamu.

Kino kiviriddeko okudwdwalikana okumala eddakiika ngamakumi 30.

Kaginda abadde alabiseeko mu kakaiiko kano ne Winnie Kiiza.

Omumyuka wa ssentebe wakakiiko Robina Rwakoojo wabula alamudde nti omubaka Kaginda ennyambala ye teriiko buzibu.

Leave a comment

0.0/5