Bya Ruth Anderah
Omujulizi omukulu mu nkayana ze ttaka mu distrct ye Mbarara, Amos Katureebe ngono mukiise mu lukiiko lwa muniapaali eye Mbararara kitegezeddwa nti yalumbiddwa abatamanya ngamba abamuyiridde acide, mu kiro ekikesezza olwaleero, ngono abadde asubirwa okulabikako mu maaso gakakiiko komulamuzi Catherine Bamaugemerirwe akanonyereza ku nkayana ze ttaka.
Ono wetogerera ngali mu ddwaliro ekkulu e Mulago gyaleteddwa, okunjabibwa oluvanyuma lwe mbeera ye okwongera okwononeka.
Obulumbaganyi buno kigambibwa nti bwabaddewo ku ssaawa nga 2 ezekiro bweyabadde adda awaka we e Nyamityobora ekisangibwa ku nkingizzi zekibuga Mbarara.
Okusinziira ku Pricila Katusiime ono yabadde asimbye mmotoka ye ku ssundiro lyamaguta erya Bam petro station, wetera okusula wabula bweyabadde atambula okutuuka awaka nagwa ku kyokya.
Basoose kumutwala mu ddwaliro lya Mbarara hospital abalemererddwa, nebamwongerayo mu ddwaliro ekkulu e Mulago wano e Kampala.