Skip to content Skip to footer

Abasawo baziimudde minista.

Bya samuel ssebuliba.

Abasawo nga bayita mu kibiina kyabwe ekibagatta ekya Uganda medical association bategeezeza nga bwebategenda kupondooka badde ku mirimo gyabwe nga minister bweyabalagidde okujjako nga bafunye byebabanja.

Kinajukirwa nti mukiro ekikeeseza olwaleero Minister Jane Ruth Acheng yakaladde n’ategeeza nga abasawo bwebalina okudda ku mirimo awatali kakwakulizo konna , era abataakikole bayinza okukangavulwa.

Mubalala abaalabuddwa bebasawo abakyayiga , nga bano Minister yabategeezeza nti singa tebaalabikeko leero, tebagenda kudamu kufuna kasiimo.

Twogedeko ne Dr Brian Kasagga nga ono yayogerera aba Uganda medical association n’agamba nti Minister byayogera tebibakwatako, bbo byebabanja bamala kubifuna.

Leave a comment

0.0/5