Bya Damalie Mukhaye .
Olunaku olwaleero abaana aba-S.6 lwebagenda okutegeezebwa bwebalina okugoberera nga bakola ebibuuzi byabwe ebyakamalirizo byebagenda okukola ku Monday.
Bino by’ebibuuzo ebisembayo omwaka guno nga eby’asooka byali bya S.4 nekudako ebya P7 nga kakano ebisembayo byebya S.6.
Hamis Kaheru nga ono yayogerera ekitongole ekya UNEB agambye nti abasomesa balina okulambika abaana ku byebalina kugoberera mu bibuuuzo bino.
Mungeri yeemu n’abaana abasoma eby’emikono kko n’eby’obusubuzi nabo bagenda kubuulirwa by’ebalina okugoberera nga bakola ebibuuzo byabwe nabyo ebitandika ku Monday.
Twogedeko n’amyuka akulira ekibiina ekikola ogw’okugola ebibuuzi byabano ekya Uganda Business and Technical Examinations Board nga ono ye Wilfred Nahamya, nagamba nti kuluno bagenda kutuuza abaana abasoba mu mitwalo 86,000, era nga bino ebibuuzo biggwa nga December 20th.