Pulezidenti Museveni n’ekibiina kye ekya NRM balabuddwa obutanenya akulira emirmu mu KCCA Jeniffer Musisi ku bitagenda bulungi mu kibuga.
Nga yakawangulwa mu kalulu ke Kampala, Museveni yakiteeka ku maanyi agasukiridde agakozesebwa mukyala Musisi nga akola emirimu gye mu Kampala.

Kati akulira ekibiina kya Research World International Patrick Wakida agamba okunenya Musisi baabaze bubi.
Mukyala Musisi azze yewozaako nga buli ky’akola bwakikolera wansi w’amateeka.