Ebyobulamu
Mukole n’ebyaalo
Abaami b’emiruka basabiddwa okukolagana n’obukiiko obukola ku byobulamu ku byaalo okubangula abantu ku buyonjo obwetaagisa
Akulira edistrit ye Mbarara, Deus Tumusiime agamba nti obuyonjo buva ku mitendera gya wansi ng’obukiiko buno busobola okuyambako mu kusomesa abantu ku mbeera entuufu ey’okubeeramu
Ono okwogera bino abadde ayogerako eri abantu ne Bubaare ku ssaza lye Kashair ku ngeri y’okukuumamu obuyonjo
Kawefube w’aliko agendereddwaamu kulaba nti abantu babaeera bayonjo nga ministry y’ebyobulamu yebiwomyeemu omutwe
SSentebe agamba nti mu bitundu gyebayise basobodde okuyamba abantu okumanya ekituufu era ng’endwadde zikendedde
Endwadde nyingi eziva ku bujama nga muno mwemuli ekiddukano