Ssentebe w’enteekateeka z’emikolo gy’amazaalibwa ga Kabaka ow’ekitiibwa Apollo Nelson Makubuya ategeezezza nti emisinde gino Ssabasajja yasiimye okugisimbula ku ssaawa 12 ez’okumakya ga April 10, 2016.
Abanadduka embiro empanvu baakuyitira ku wankaaki w’Olubiri, baabo ku luguudo Kabakanjagala,bayite e Bulange bagwe ku Balintuma Rd, Nakulabye, Kira Road Poliisi, Lugogo By-pass, ewa Mukwano, Kibuye, Lubiri Ring Road bayingire Olubiri.
Wabula owekitiibwa Makubuya asabye bonna abaneetaba mu misinde gino okutandika okweteekateeka
Kinajukirwa nti ensimbi ezinaava mumisinde gino zakugenda mukaweefube wakujanjaba bakyala abalina obulwade bwekikulukuto.