Ono agamba nti akavuyo konna kaatandise , ekibinja ky’abalumbaganyi bano 7 bwebazinzeeko poliisi ye Kidodo nebatematema omuserikale Godfrey Kasimba nebamutta, tebaakomye okwo nebatwala emundu n’amasasai 30,wabula munne eyasimatusse Patrick Twaha natako omu , kko nokulumya omulala.
Bino bigidde mu kaseera nga e Bundibugyo nayo kyedomola , era nga omuwendo gwabantu abakafa tutegeezedwa nti bawezze 11.
Aduumira poliisi yeeno o Martin Tukahebwa ategezezza nga bwebakakwata abantu 23 okuli n’agambibwa okuduumira abalumbaganyi.
Mukaseera kano ssabapolice wa uganda Gen kale kaihura mutaka mukitundu kino, nga eno agenzeeyo kwogeraganya n’abakola ku byokwerinda.