Abanonyi b’obubudamu abenjawulo bakyagibwa mu nkambi z’ababaundabunda mu disitulikiti ye Adjumani okubatwala e Bidibidi oluvanyuma lw’ekirwadde kya Cholera okubalukawo.
Omwogezi w’ekitongole ekiddukirize ekya Uganda Red Cross Society Irene Nakasiita agamba Cholera ono y’avudde ku bukyafu mu babundabunda bano nga era 19 bebaakakwatibwa ekirwadde kino.
Kino wekijidde nga ababundabunda banji okuva mu ggwanga lya South Sudan bakyeyiwa mu Uganda nga era enkambi ezimu zijudde nga kati abalala babatwala mu nkambi ye Bidibidi.