Gavumenti etegezezza nga bw’egenda okukangavvula emikutu gy’amawulire gyonna okuli TV ne Radio egitafaayo kuteeka biwerezebwa kumpewo ebiweza ebitundu 70% nga bivudde mu Uganda.
Kuno okusalawo kukoleddwa akakiiko akalondoola ebigenda kumpewo mu lukungana olwabuli mwaka, nga eno akulira akakiiko kano Godfrey Mutabazi gyasinzidde nategeeza nga kino ekiragiro bwekigenda okutandika okukola olunaku olwaleero
Ono agamba nti obuzanyo obwa- Uganda , enyimba, kko ne programe zabaana bitekeddwa okubera ku mwanjo , kale nga anefuula naggwano agenda kufuna obuzibu mukuzza obujja licence- ye