Bya Andrew Baagala.
Police etegeezeza nga bwesazizaamu akakalu kw’eyali eyimbulidde ababaka 13 abakwatibwa mukadde kali parliament weyajiramu akacankalano Sabiiti ewedde.
Twogedeko n’ayogerera ekitebe ky’abambega ba police Vincent Ssekate n’agamba nti bano ababaka baabade balina okuddamu okweyanjula ku police kyoka mpaawo gwebaalabyako.
Ababaka aboogerwako kuliko Nandala Mafabi, Matias Mpuuga, William Nzoghu Robert Kyagulanyi, n’abalala.
Kati ono agamba nti akadde konna police eyinza okubakwata wonna weebasangira.