Bya Malik Fahad
E Masaka ebimotoka by’amafuta 2 bigudde ku bubenje bubiri obwenjawulo ekimu nekikwata omuliro negusaasanira mu mayumba agabadde okumpi.
Akabenje akasooka kabadde wali e Kijjabwemi mu tawuni y’emasaka oluvanyuma lw’ekimotoka namba T438 DDJ/T450BKH ekibadde kidda e Kampala nga kiva Mbarara bwekilemeredde omugoba waakyo nakilindiggula ennume y’ekigwo.
Dereeva w’ekimotoka kino Abdu Mwine ategezezza nga ekimotoka kino bwekigaanye okusiba yekanze kivudde ku luguudo nebanguwa okuyita poliisi okubaataasa ssikulwa nga kikwata omuliro.
Akabenje akalala kagudde ku kyalo Bisanje ku luguudo lwe Kyotera ekimotoka ky’amafuta ekibadde kiva e Kyotera bwekilemeredde omugoba waakyo nekeyefuula enfunda eziwerako nekikwata omuliro negutwaliramu n’enyumba 2.
Omu ku bananyini nyumba eyidde John Sserunjogi nga muvuzi wa bodaboda aegezezza nti afiiriddwa byabukedde.
Okunonyereza okusoose kulaze ga sereeva wekimotoka kino Moses Makumbi bw’alabye ekimotoka kino nga kitandika okukwata omuliro n’akibuukamu olwo negusasana.