Bya Eria Lugenda
Olukiiko olukulembnera eggombolola ye Busaana mu district ye Kayunga lutaddewo amateeka amakakali kukunywa saako n’okutunda omwenge muggombolola eno mukaweefube wokukendeeza kubumennyi bwamateeka n’obwakileeleesi mukitundu.
Sentebe weggombolola eno David Mubyaliwo agambye nti abatuuze
mu kitundu kino basusse okukeera mubirabo by’omwenge okwessiwa
entabaaza bakadde nebagangayira mubiseera ate mweebandibadde bakolera emirimu .
Kaakti okusinziira ku tteeka eppya teri kuggulawo kirabo kyonna nga ssaawa kkumi ez’olweggulo tezinawera ate bwezikoona nya ez’ekiro nga oggalawo.
Eggombolola ye Busaana mu Kayunga yemu kwezo ezisingamu abatamiivu nga abeeno ebbaala bazikeera kumakya nnyo,sso ngaate nabalala bakeesezaayo,nga nabakyaamu mwebasinziira okunyaga ebintu byabatuuze naddala mubudde obwekiro