Bya Shamim Nateebwa
Abayisiraamu okwetolola eggwanga olwaleero baakusabira ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II nga omutanda akuza amazaalibwa ge age 62.
Okusaba okukulu kwakbeera ku muzikiti e Kibuli wamu neku muzikiti gaggade ogwa Kampala Mukadde.
Okusinziira ku Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga wakubeerawo okusaba okwenjawulo ku kanisa y’aba Seventh Day e kireka namakinsa gabaseventh day amalala olwo ku Sunday okusaba kubeera ku lutikko e Rubaga ne Namirembe.
Katikiro agamba emikolo gyakubeera wali ku Lubiri ss Buloba Campus mu disitulikiti ye Wakiso.
