Wabadewo katemba mu kakiiko ka parliament akakola ku nsonga z’ebyokwerinda , nga kino kidiridde ssentebe w’akakiiko kano, era omubaka we Mityana Judith Nabakooba okugezaako okugaana omubaka Muwanga kivumbi okubaako by’asoya ssabapolice wa uganda.
Kivumbi okutuuka mu nkayaana zino kidiridde okukalira mu ssabapolice wa uganda nga agamba nti abantu beyakwata ku misango gy’okutta eyali omwogezi wa Police Andrew Felix Kaweesi,beebo abaali mu komera Kaweesi weyatirwa,kale nga kuno kubuzabuza banna-uganda
Wabula mukwanukula yye Ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kayihura asabye ababaka ba parliament okwesiga poliisi ku by’okunonyereza abatta Kaweesi.
Kayihura ategezezza nti balina webatuuse mu kunonyeraza, kale betaaga obwesigwa bwabannayuganda bonna ku nsonga eno.