Skip to content Skip to footer

Abayizi 13 bakwatiddwa obutatuusa bulabe ku basomesa

Bya Ivan Ssenabulya

Poliisi e Kapchorwa eriko abayizi be ssomero lya Kapchorwa Standard SS Academy 13 begalidde, nga kigambibwa nti babadde bekobaana okutuusa obulabe ku basomesa ne bayizi banaabwe.

Poliisi era egamba nti bakanye nomuyiggo ku akulira abayizi Elimin Francis, aliira ku nsiko nga kigambibwa nti yabaddenga akuma omuliro mu bayizi.

Kati omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Sipi Rogers Taitika abayizi bano tebagenda kubagulako musango gwonna kuba bali wansi w’emyaka 17 nayenga bagenda kubazaayo ku ssomero okubakwasisa empisa.

Leave a comment

0.0/5