Bya samuel ssebuliba.
Mu gwanga lya Zimbabwe agavaayo galaga nga omukulembeze we gwanga lino Gabriel Robert Mugabe bwakunkumuddwa omukono mukibya, nga ono abadde yakafugira egwanga lino emyaka 37.
Musajja mukulu ono mukaseera kano alina emyaka 93 n’enaku 248 nga ono yazaalibwa mu mwaka gwa 1924.
Webukeeredde leero nga Radio ye gwanga amagye gagiwambye, kko n’amaka g’omukulembeze we gwanga.
Edakiika ntono emabega obubaka butuuse wano nga bulaga nga amagye bwegawambye amaka ga Mugabe mu kibuga Harere , era nga kakano Mugabe n’abomunjuuye bamaze okuwambibwa.
Mungeri yeemu omumyukka wa Mugabe-Emmerson Mangagwa alondedwa okugira nga akola nga omukulembeze we gwanga lino.
Kinajukirwa nti gyebuvudeko Mugabe yaataama n’agoba omukulu ono nga amulanga kumunyooma, kyoka mukwanukula Mangangwe n’agamba nti agenda kusooka aveeko mu gwanga,wabula nga wakudda atwale obuyinza.
Bbo banna-ZANU bagamba nti ekibadewo tekubadde kuwamba gwanga, wabula kubadde kukyusa bukulembeze bwa gwanga okwemirembe.

