Bya kyeyune moses.
Akakiiko ka parliament akakiiko akakola ku by’edembe lyobuntu kavumiridde engeri ekitongole ekikola ogw’obukesi mumagye egya CMI gyekyakwatamu abasajja 4 abateberezebwa okutta Kaweesi, kyoka nga baali bakwatiddwa.
Kinajukirwa nti sabiiti ewedde amangu dala nga abakulu bano 7 bakateebwa, ate amagye gaddamu negabayigga okukakana nga gakutte Umaru Maganda, Ahmed Senfuka, Ibrahim Lisa ne Abdul Masa Ojere, nga omu kubano yakwatibwa wali e Nakwa mungeri enkambwe.
Twogedeko ne ssentebe w’akakiiko kano Jovah Kamateeka n’agamba nti agenda kufuba okulaba nga abaakola kino bavunibwa