Bya Ndaye Moses
Ssabapoliisi we gwanga Martins Okoth Ochola yeyamye, era nasubiza okukuza nokulonda abakazi mu bifo ebya waggulu mu poliisi.
Kino agambye nti kyakumalawo kyekubiira mu kikula kyabasirikale, nagabakazi abasing babadde mu bifo bya wansi.
Bino byebimu ku byambise era byatunuliidde okukola, ngagamba ntu alubiridde okutumbula abakyala okutuuka ku mutendera ogwensi yonna.
Ochola kati asabye abantu babulijjo, okuwagira enkyukakyuka ze, zaagenda okukola.
Ate omumyuka womuddumizi wa poliisi Major General Steven Sabiti Muzeyi, ategezeza nga bwebagenda okwongera amaanyi mu byekikugu, mu kunonyerezanga ku misango naddala egyo eminene.
Agambye nti bagenda kwonger abakugu, mu kitongole ekyekebejja obujulizi nokubukungaanya.Muzeyi agambye nti era bagenda kuwandiisa buli byakulwanyisa, mu gwanga mu kawefube okukendeeza ku bumenyi bwamateeka.