Skip to content Skip to footer

Eyagenze okubba ente bamusse

Bya Ivan Ssenabulya

Poliisi mu district ye Arua mu West Nile etandise okunonyereza ku butemu obwakoleddwa ku musajja owemyaka 36.

Omugenzi ye David Mwebaze nga mulaalo era abadde mutuuze ku kyalo Kiranga mu gombolola ye Ariwa mu district ye Yumbe.

Ono omulmbo gwe gwasangiddwamu akasaale mu kifuba ku kyalo Birungi mu gombolola ye Okollo mu district ye Arua.

Omwogezi wa poliisi mu West Nile Josephine Angutia akakasizza ettemu lino, era agambye nti okunonyereza kutendise.

Wabula kigambibwa nti omugenzi yavudde mu district ye Yumbe okujja mu Arua, okubba ente.

Leave a comment

0.0/5