Akakiiko k’ebyokulonda kategezezza nga buli kyetaagisa mu kuddamu okutegeka okulonda kwa ssentebe wa disitulikiti ye Bugiri bwe kiwedde
Olunaku lwenkya akakiiko kano kaakutandika okusasanya ebikozesebwa mu kulonda nga era abesimbyewo tebalina kuddamu kunonya kalulu okusukka olwaleero.
Nga ayogerako eri bannamawulire amakya galeero, ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng. Badru Kiggundu ategezezza nga bwebagenda okukkiriza abakiikirira eyesimbyewo 2 bokka buli walonderwa.
Ebifo ewalondebwa nabyo byongeddwako okuva ku 266 okutuuka ku 325 nga era abalonzi abasoba mu 140,000 bebasuubirwa okwetaba mu kulonda kuno.