Poliisi eriko omusajja gwekutte nga ono agambibwa okubeera nanyini pikipiki ezze ekozesebwa mu kuddusa abatta abakulembeze b’abayisiraamu wano mu ggwanga.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategezezza nga bwebakutte Musa Muze ne munne omulala ategerekeseko erya Afan.
Bano bakukunuddwa mu muzikiti ogumu e Lira gyebamaze ebbanga nga bekukumye.
Bano kati bagasse ku lukalala lw’abo 20 abasooka okukwatibwa nga era basimbibwa dda mu mbuga z’amateeka.