Skip to content Skip to footer

Bannamawulire bawummuziddwa

Kaggwa njala

Banamawulire 3 bawumuzidwa ku mirimu.

Bano balangibwa kukyaza banabyabufuzi abavuganya gavumenti ,abawagira Lukwago, kyokka nebalemererwa okukyala bannabyabufuzi okuva ku ludda lwa gavumenti.

Abagwummuziddwa  kuliko Simon Kaggwa Njala, Basajja Mivule ne Peter Kiyingi amanyidwa nga PK Bbosa.

Wabula ye akulira radio, bano kwebabadde bakola Maria Kiwanuka asambaze amawulire gano, kyokka n’atusindika eri abaddukanya radio eno.

Wabula kawefube waffe ow’okufuna akulira emirimu ku radio eno Geoffrey Mulindwa agudde butaka.

Leave a comment

0.0/5