Amawulire
Brenda Nabukenya bamumezze
Bya Ruth Andera
Kkooti ejulirwamu akakasizza munna NRM Lillian Nakate ku kifo ky’omububaka omukyala owa disitulikiti ye Luweero.
Abalamuzi 3 okuli amyuka ssabalamuzi w’eggwanga Steven Kavuma, Paul Mugamba ne Alfonse Owiny- Dollo basazizzaamu eky’omulamuzi wa kkooti enkulu David Batema eyasazaamu Nakate ku nsonga z’okugulirira abalonzi n’okumenya amateeka g’ebyokulonda.
Nakate naye yaddukira mu kkooti ejulirwamu mu June w’omwaka oguwedde era kkooti nerangirira nti ekifo kino kikalu era abeeno baddemu okulonda.
Munna DP Brenda Nabukenya yeyasooka okwekubira enduulu mu kkooti enkulu nga alumiriza Nakate okuwa abalonzi emitwalo 10 mu gombolala ye Butuntumula .