Bya Shamim Nateebwa
Obwakabaka bwa Buganda buveddeyo nebwanukula ensalawo y’omulamuzi Patricia Basaza, bano bategezza nga bwebagenda okusayo ekiwandiiko nga bawakanya ensalawo yomulamuzi Patricia Basaza eyasazewo nti Kabaka aweyo empapula ezinyonyola ku taaka lya Mailo eri omuwabi r Male kiwanuka mabirizi.
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire wali ku Bulange Mengo, Munnamateeka wobwakabaka bwa Buganda Daudi Mpanga I ategezezza nga bwebagenda okuwayo okusaba kwabwe eri kooti olunaku olw’enkya nga bawakanya esalawo eno kubanga Kabaka alina eddembe eri ebyama bye era nga bakulikuma.
Mpanga agamba omwami Male kiwanuka alina ebigendererwa bye bilala byakyaganye okwajula.
Olunaku lwajjo omulamuzi wa kooti enkulu Patricia Basaza yasewo nga alagira Kabaka okufulumya byona ebipapula bya bank ebye kitongole kya Buganda ekya Buganda Land Board eri Mabirizi eyatwala Kabaka mu kooti nga tewanayitta naku zomwezi 30 omwezi guno.