Bya Malik Fahad
Ebintu bya bukadde bisaanyewo oluvanyuma lw’omuliro okusanyawo ebibanda by’embaawo nebu kiosk obwenjawulo mu tawuni ye Lyantonde.
Bino bibadde ku luguudo lwe Lumama nga era ebibanda 20 n’amaduuka gendabirwamu tegalutonze.
Abatuuze bagezezzaako okuzikiza omuliro guno naye nga buteerere negusasanira mu bibanda byonna .
Aduumira poliisi ye Lyantonde Tomas Oyo agamba omuliro guno gwandiba nga gwaavudde ku masanyalaze.
Agamba amaduuka gano gaali gaawayaringibwa bubi nga kyandiba nga kyekyavuddeko omuliro guno.