Bya samuel ssebuliba.
Eyaliko omuduumizi w’amagye ge UPDF Gen Mugisha Muntu asabye amagye ge gwanga obutageza kulaga ludda mukaweefube ono agenda mu maaso ow’okujja ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga.
Nga ayogerako ne banamawulire e Luweero mukaseera kano gyali,Gen Muntu agambye nti amagye galina kubeera kuluda lwabantu, kale nga tegagwana kukozesebwa abakulemebeze abeenonyeza ebyabwe.
Ono mungeri yeemu akikaatirizza nti okwemoolera ku kawaayiro 102 (b) kigenda kuteeka egwanga mu katyaabaga , kale nga bonna abakirowoozako bagwana bakikomye.