Bya Malik Fahad.
E kalungu entiisa ebuutikidde abatuuze, nga kino kidiridde omulalu okukwata omuggo naakuba omwana ku mutwe okukakana nga amuse.
Omwana atiddwa ye Shanitah Navuga abadde asoma ekibiina ekya nursery.
Omulalu amukubye ye Deo Lwanga nga ono amusanze amakya ga leero nga agenda ku somero.
Lameck Kigozi nga yayogerera police yeeno akaksiza ebibadewo.