Bya Damalie Mukhaye
Gavumenti ekakasizza okubalukawo wekirwadde kya Marburg mu district ye Kween, oluvanyuma lwokwekebejja abamu ku balwadde.
Minister webyobulamu Dr. Jane Aceng ategezeza banamawulire nti baliko omukazi owemyaka 50 eyafudde oluvanyuma lwokwetaba mu kuziika kwa Muganda we eyabadde omulwadde.
Wabula akaksizza nti basindise ekibinja kyabakugu, okwekebejja nokwetegereza embeera.
Omuwendo gwabantu babiri bebakafa okuva lwebatereza ekirwadde kino nga 17th October mu district eno.
Ekirwadde kino kyabuligo, kittirawo nga kyefanayirizaako Ebola.
Kirina obubonero ngokusesema omusaayi, omutwe ogubaluka, okuvaamu omusaayi mu buli kiundu kyomubiri nebirala.