Bya Abubaker Kirunda
Waliwo omukazi, eyali yakwatibwa ku misango gyobutemu, afunye ebissa okuzaala, mu kaddukulu ka poliisi, ngera amalirizza ngazalidde mu kalwaliro ka poliis.
Goroti Batenga omutuuze mu district ye Luuka yakwatibwa nga kigambibwa nti yalina omukono mu kutemula omusomesa.
Ono bamuleeta kupoliisi ye Jinja wabadde akumirwa, okutuusa lwazadde omwana owobuwala.
Omwogezi wa poliisi mu tundutundu lya Kiira, Dianah Nandaula ategezezza nti nakazadde ono ne zadde lye bali mu mbeera nnungi, ku ddwaliro lya Jinja police barracks clinic.
Wabula poliisi egamba nti omukazi ono bwanaterera, bagenda kumuzaayo mu kaddukulu, kubanga emisango gye tejinaggwa.