Bya Damalie Mukhaye
Abakiise mu nkiiko zekibuga Kampala, abagenda kwetaba mu musomo e Kyankwazi ogwategekeddwa minister wa Kampala Betty Kamya bagenda kubonerezebwa.
Ebibiina byobufuzi ebivuganya gavumenti byabadde bisazeewo okuzira olusirika luno, waddenga abamu balabiddwako nga bagenda.
Bwabadde ayogera ne banamwulire awo ku City Hall, Lord Mayor wa Kampala Erias Lukwago ategezeza nti ebibiina ababkiise bano, gyebava bibawandikidde babawe amannya ga bonna abagenze.