Skip to content Skip to footer

Eyali amyuka Ssabalamuzi Letitia Mary Mukasa-Kikonyogo afudde

Bya Sam Ssebuliba

Eyali amyuka wa Ssabalamuzi we gwanga, eyawumula, Leticia Mary Mukasa-Kikonyogo afudde akuwungeezi ka leero mu ddwaliro ekkulu e Mulago, oluvanyuma lwekimbe ekyamangu ekyamugwiridde.

Ono afiiride ku myaka egyobukulu 77.

Okusinziira ku Solomon Muyita omwogezi w’ekitongole ekiramuzi, Kikonyogo yadduisiddwa mu ddwaliro e Mulago ennaku ntono emabega oluvanyuma lwokusanyalala.

Alipoota zabasawo entongole tezinafuluma eziraga, kiki ekiviriddeko ono okufa.

Omugenzi Kikonyogo ye mulamuzi omukazi eyasooka ku ddaala erisooka wakati w’omwaka 1971 ne 1973, ye mulamuzi omukazi eyasooka okukulembera kooti ento oba Chief Magistrate  mu 1973 ne 1986.

Ono ye mukazi eyasooka okulondebwa ng’omulamuzi mu kooti enkulu mu mwaka gwa 1986 songera yatulako ku kooti ejjulirwamu.

Mu mwaka gwa 1997, Mukasa-Kikonyogo yalondebwa  ng’omulamuzi omukazi eyasooka okutuula era ku kooti ensukulumu ateera yemukazi eyasooka okumyuka Ssabalamuzi we gwanga.

Omugenzi yakulirako kooti ejjulirwamu era n’aberako President owa kooti eya ssemateeka mu February wa 2001.

Omugenzi Mukasa-Kikonyogo ye mulamuzi omukazi eyasooka okukulembera ekibiina ky’abalamuzi abakyala mu Africa nemu nsi yonna.

Gyebuvuddeko paapa Benedict XVI yamulonda, nga omu ku banna-Uganda babiri, abalondebwa okubeera abasirikale be  mu Uganda nemu Africa yonna.

Leave a comment

0.0/5