Skip to content Skip to footer

Omubaka Nambooze akomyewo mu gwanga okuva e Yindiya

Bya Ivan Ssenabulya

Omubaka owa munispaali eye Mukono, Betty Nambooze akomyweo mu gwanga olwaleero okuva mu Buyindi gyetwalibwa okujanjabibwa nga bamulongosezza enkizi, eyakutuka.

Nambooze ayaniriziddwa ssentebbe wekibiina kya DP mu Mukono munisipalite Haji Lukman Sseggayi, abadde akulembeddemu abawagizi okuva e Mukono nabenju yomubaka.

Nambooze ayogeddeko ne banamawulire ku kisaawe Entebbe, nagamba nti waliwo essuubi waddenga tanawona naye waliwo enjawulo, okusinziira weyagendera.

Ategezeza nti ensimbi ezamuweebwa palamenti zaali ntono, nga yakozesezza neku zize.

Omubaka Nambooze yoomu ku bafuna obuvune, mu kulwanagana okwali mu lukiiko lwe gwanga olukulu, wakwti wababaka nabebyokwerinda, mu kusoma ebbago eryokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga.

Leave a comment

0.0/5