Bya Ruth Anderah
Kooti enkulu mu Kampala egobye omusango ogwali gwatwalibwayo ebekibiina kya Uganda Medical Union nga bawakanya ekya government okuteesa nekibiina kya Uganda Medical Association ekigamba nti kyekitaba abasawo abali mu kwekalakaasa.
Bano okusinga baali bagaala kooti etekewo ekiwandiiko ekigaana bano okuteesa ne govt ku nsonga zabasawo abali mu kwekalakaasa.
Kati bwabadde awa ensala ye ku msusango guno, amyuka omuwandiisi wa kooti Sarah Langa agambye nti tekyetagisa kuwa kulagira nga kuno kubanga enteseganya ku nsonga zabasawo ziringa eziwedde.
Kinajukirwa nti aba Uganda Medical Union baali badukira mu kooti nga bagamba nti banaabwe aba Uganda medical Association baliwo mu bumenyi bwamateeka, nga tebagwana kuteesa na gavumenti ku nsonga zabasawo.