Skip to content Skip to footer

Buganda ewaddeyo ebyuma byeyaguze okuddukirira ekirwadde kya Sickle cells

Bya Shamim Nateebwa

Obwakabaka buwaddeyo ebyuma ebikozesebwa mu kujjanjaba endwadde ez’enjawulo naddala sickle cell oba Nalubiri eri ekitongole kya Uganda National Health Laboratory Services.

Ebyuma bino byagulibwa mu nsimbi ezaava mu misinde gy’amazalibwa ga kabaka og’omulundi 62 egyali mu Lubiri e Mengo, omwaka guno.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asinzidde wano n’akubiriza abantu okusooka okwekebeza naddala nga tebannaba kufumbiriganwa kibasobozese buli omu okumanya munne bwayimiridde ku kirwadde kya Sickle Cells.

Agamba kino kijja kukendeeza ku kusasaana kw’obulwadde bwa Nalubiri.

Minister webyobulamu mu bwakabaka bwa Buganda, Owek Dr. Ben Kiwanuka Mukwaya agambye nti obwakabaka bwasazeewo bwebutyo nga bwebsubiza.

Leave a comment

0.0/5