Bya Damalie Mukhaye.
Oluvanyuma lw’ekibina kya FDC okulonda omukulembeze omugya Patrick Amuriat, ku lunaku olw’okutaano, tutegeezedwa nga entekateeeka z’okumulayiza bweziwedde era nga kwakubaawo ku lunaku lwakuna.
Kinajukirwa nti Patrick Amuriat ono yali mubaka wa Kuumi , nga ono yeyawangudde munne abadeko Gen. Mugisha Muntu ku bitundu 57%, songa yye Muntu yafunye 41%
Twogedeko n’amyuka ssabawandiisi wa FDC Harold Kaija n’agamba nti newankubadde omwani ono yakuba ebirayiro ku lw’omukaaga, bino byonna byasazibwamu kubanga luno telwalli lunaku lwakukola, kale nga okulayira okutuufu kigenda kukolebwa ku lwakuna.