Skip to content Skip to footer

Gavumenti ewabuddwa kubye ddagala

Bya Ritah Kemigisa

Okunonyereza okugya, kulaze nti ebbulya lye ddagala eritakoma mu malwaliro, liva ku kuba, nti amalwaliro gaweebwa eddahala lyerimu, nga bwegwali awatali kukyusaamu, oba okusinziira ku bwetaavu nobungi bwabalwadde.

Okunonyererza kuno kwakoleddwa, okwekenneya ensasanya yanesimbi eya gavumenti, nga kwakoleddwa abekitongole kya,  Advocates Coalition for Development and Environment.

Omu ku betabye mu kunonyererza kuno, omukugu mu byenfuna Ramathan Goobi, agambye nti awatali nambika nambulukufu, eyokuwebwamu eddagala, amalwairo gakwongera okukaaba olutaggwa, nabalwadde okukosebwa.

Asabye gavumenti okuyita mu ministry yebyobulamu, okuvaayo nekola empya enagobererwanga.

Okunonyereza kuno kwakolebwa mu district 8, okuli Kamuli, Kabarole, Gulu, Wakiso ne Bududa, nga kwakolebwa mwaka guwedde.

Leave a comment

0.0/5