Skip to content Skip to footer

Ofwono Opondo ayambalidde aba CCEDU

Bya Ivan Ssenabulya

Omwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo ayambalidde abalondoozi bebyokulonda aba Citizens Coalition for Electoral Democracy in Uganda, olwe bbaluwa gyebawandikira omukulembeze we gwanga.

Mu bbaluwa gyebawandiika nga 18th January aba CCEDU basaba presidenti atekemu amanyi okulabanga, ennongosererza mu mataeeka gebyokulonda zanjulwa eri palamenti mu bwangu.

Bano banokolayo ensonga yokusasanya ssente eziyitiridde mu kulonda, okulwanagana okutera okwetobeka mu kulonda nebiralala ebigwana okukolwako, ngokulonda kwa bonna okwa 2021 tekunatuuka.

Wabula Ofwono Opondo agambye nti ebbaluwa eno, baalina kujiwandikira palamenti ababaga amateeka.

Yye omukwanaganye wemirmu gya CCEDU Cryspy Kaheru, agambye nti ebbaluwa eno, bajiwa presidenti akulira essiga ekulembeze, kubanga entekateeka yokubaga amateeka gyegatandikira.

Leave a comment

0.0/5