Skip to content Skip to footer

Kadaga ayise minista webyenjigiriza

Bya Damalie Mukhaye, Ndaye Moses ne Sam Ssebuliba

Ekitongole kyebigezo mu gwanga ekya UNEB kyambalidde amasomero, agalemererwa okumalayo syllabus mu budde.

Ssbawandiisi wekitongole Dan Odongo agambye nti ebibuuzo ebyajibwa mu abaana byebasoma ku nkomerero yomwaka, baabikola bubi nnyo.

Agambye nti kyandiba nga baali tebanabisoma songa amasomero galina obuvunanyizibwa okusomesa.

Ate minister owebyenjigiriza nemizannyo Janet K. Museveni alabudde obukulembeze bwazi gavumenti ezebitundu, ku nsasanya ya ssente ezokulambula amasomero, omulundi gumu.

Ono agambye nti alina amawulire agalaga nti ensimbi bwezijja, ngabalambuzi bamasomero bazegabanya, awatali kukola mirimu.

Ategezeza ngensimbi zino bwezitekeddwa okukozesebwa okulondoola ebikolebwa mu masomero, nekigendererwa okutumbula omutindo gwebysnjigiriza.

Kati agambye nti ssente zino era tezirina kufuluma, omulundi gumu wabula zirina kujja mu bitundutundu.

Yye Minister owebyenjigiriza ebya waggulu, John Chrysostom Muyingo avumiridde abantu abkozesa emikutu muyunga bantu oba social media okutatatana, ekifanayi kyebyenjigiriza.

Minister agambye nti abantu bayita ku mikutu gino, okukolokota ekitongole kyebyenjigiriza, nga bwekitakola bulungi mirimu gyakyo, nokuvuma enkola ya bonna basome.

Wano awasabidde gavumenti, okutunula mu nkozesa yemikutu gino, oba ssi ekyo, ebyenjigiriza byakwongera okwononeka, olwabantu abenonyeza ebyabwe.

Mungeri yeemu omukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga alagidde minister, owebyenjigiriza nemizannyo Janet K. Museveni okulabikako eri palamenti, wiiki ejja okunonyola kiki kyebakoze okulwanyisa omuzze gwamasomero okubinika abazadde ebisale.

Kino kidiridde okwemulugunya, okuleteddwa omubaka wa Mukono South, Johnson M. Ssenyonga omulundi ogwokubiri ngagamba nti amasomero gobwananyini gawanika ebisale, buli wegagalidde kalenga kitaddewo omuwaatwa nti abatalina ssente bayinza obutasomesa baana.

Kadaga era alagidde nobukiiko bwa palamenti 2, okuyingira mu nsonga zobuwereza eri abantu mu district ye Kween.

Okusinziira ku Kadaga eno waliyo egombolola 10 ezitaliimu yadde, ssomero lya secondary, nebiralala bingi abaayo byebatalina.

Kati alagidde akakiiko akakola ku nsonga zobwenkanya aka equal opportunities committee ne ministry yebyenjigiriza, okutunula mu nsonga eno.

Leave a comment

0.0/5