Bya Moses Kyeyune
Minister wa Kampala, Beti Kamya yegaanye okufulumya emmundu eyali eyingiziddwa munda mu palamenti omutesezebwa.
Betty Kamya agambye nti erinnya lye aliwuliddeko nga lyogerwako neriwandikibwa nemu mpapula zamawulire nga bweyakukusa emmundu ya Minister omubeezi owobutonde namazzi Ronald Kibuule, okujifulumya palamenti.
Kamya agambye nti ayagala palament ekakake oluppula lwamwulire olwandiika bino, lwetonde kubanga lwwandiika kalebule.
Kinajjukirwa wiiki ewedde, spiika yakakasa nga Kibuule ddala bweyayingiza emmundu.
Wano era aliko ababaka 40 beyasindika mu kakiiko akakwasisa empisa, wabulanga kigwambibwa nti ate erinnya lya Kibuule teriri ku lukalala olwo.