Bya Moses Kyeyune
Omukubiriza wolukiiko lwe gwanga olukulu, Rebecca Kadaga alayidde obutetondera aboludda oluvuganya gavumenti, olwokubagoba mu palamenti.
Bangi babadde bavumirira spiika, kungeri gyeyagobamu abavuganya gavumenti natuuka nokukiriza abagwira, okuyingira mu palamenti, abegye erikuuma omukulembeze we gwanga, bwebaali bakwakanya ekyokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga.
Kati Kadaga abadde mu palamenti emisana ga leero nagamba nti kikafuuwe okwetonda, era nagamba nti yye teyalagirako babyakwerinda okusinda palamenti.