Bya Julius Ocungi
Omusibe mu kkomera lya Lugore mu distrct ye Gulu addusiddwa mu ddwaliro oluvanyuma lwokumira akampapula ka ssente akemitwalo 5.
Ono kigwambibwa yamize ssente zino ngagamba nti abasirikale babadde bagenda kumujjako ssente ze.
Sengigwa Sendodie owemyaka 32 okusinziira ku Daily Monitor yasoose kuzisiba mu kaveera.
Kati oluvanyuma ono olubuto lwamulumye kwekutegeeza ku basirikale bamakomera, abamudusizza mu ddwaliro.
Oluvanyuma ajiddwa mu kalwaliro akatono webamusokezza, nebamwongera mu ddwaliro ekkulu erya Gulu Regional Referral Hospital.
Kati abasawo bakola butaweera okutaasa obulamu bwe.