Poliisi ye Kamuli eriko omusajja ali ku gwokusobya ku muwala gwezzemu okukwata nga agezaako okutoloka.
Collins Banaabe nga muyizi wa sinita eyokutaano ku ssomero lya St John Kagoma akwatiddwa bw’abadde egezaako okubombo nga abakwate batwalibwa okunaaba.
Akulira okunonyereza ku misango ku poliisi ye Kamuli Pamela Agiro ategezezza nga ababodaboda bwebabayambyeko okugoba omusajja ono abadde amazemu omusubi.
Ono kati wakugulwako n’omusango gw’okugezaako okutoloka mu kkomera.
Kigambibwa nti Banaabe ono y’afunyisa omuwala wa P7 olubuto mu 2010.
Wabula taata w’omuvubuka ono ategeezezza nti Mutabani we yakola ekikolwa kino mu mwaka 2010 nga buto era nebasasula bakadde b’omuwala kyokka nga buli lwebavuuwala nga bamulumba.